Owa NUP Asiimye Museveni Olw’Okuta aba Bodaboda

0

Omubaka wa Nakawa East Eng Ronald Balimwezo asanyukidde ekyo mukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni okyokujawo ‘curfew’ kuba bodaboda Wabula nabasaba okusigala ngabagoberera ebiragiro ebyatekwebwawo mukulwanyisa ekirwade ki COVID-19.

Olunaku lwegulo kubikujuko bya terehe sita e Mbale,omukulemmbeze weggwanga gyeyasinzide nategeza nga curfew kuba bodaboda wajidwawo era nga baddembe okuvuga pikipiki zaabwe esaawa yona watali kubibwa kumuko nga bwekibadde emabega nga makoma okola kusaawa emu eyakawungeezi.

“Njagala okutwala omukisa guno okwebaza gavumenti okuggulira Bodaboda, kubanga tubadde nobuzibu bungi nyo era ndowooza bawulidde amaloboozi gaffe, emirimu gye kiro gyali gyagulwawo naye ate nga abatambuza abakoze bane ekiro nga ate basibe, naye kati nabo bagudwawo.” Balimwezo nga anyonyola.

Mungeri yeemu, Eng Balimwezo mukuwayamu naffe, wakalatidde aba boda boda okugoberera ebiragiro nobutasembera bumenyi bwa amateka omuli obubbi,nti abanagezako bakukangavula ngawanyonyola.

“Kati namwe aba Bodaboda tubasaba okugoberera ebiragiro bya covid nobutenyigira mubumenyi bwamateeka era singa mubakwatibwa Muli bakolebwako nga amateeka bwegalagira” 

Balimwezo wano wasabidde ne gavt okutunulira kumiwendo egyatekebwawo ku permits okukendezebwa kisobozese aba bodaboda okukola omulimi gwabwe mumirembe.

“Twagala aba Bodaboda nga balina permit kunguudo, era bwetwabadds mulukiiko ne minisitule y’Entambula nasabye bakendeese kubisale bya permit wakiri ebitundu ataano kubuli kikumi, era nebasuubiza nti kigenda kolebwako. “

Leave A Reply

Your email address will not be published.