Kayunga: Omusumba Ssebaggala Yewunya Ensimbi Gavumenti zeeyiwa mukalulu naye nga Tesobola Kuyamba Bantu

0

 

Gavumenti ensimbi zonna zemutadde mu kalulu ke Kayunga okugulirira abantu okubalonda lwaki temukolamu bintu biyamba ebitundu ate ng’abantu babadde babonabona n’akalatira abantu ba Katonda bonna okutandiika okwekolera ku bizibu byabwe -Bishop Ssebaggala.

Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala okwogera bino asinzidde mukusaba kw’okusako abaana 130 emikono ku Kkanisa ye Namukupa mu Busumba bw’eKyabazaala mu Bussabadiikoni bw’eKasawo .

Rev Isaac Luzinda nga ye Musumba mu Kkanisa y’Omutukuvu Makko eKikandwa mu Busumba bw’eNamaliri mu Bussabadiikoni buno yabulidde mukusaba kuno akalatidde abakiriza okuwangaayo obudde okubeera mu maaso ga Katonda n’okwogerako naye ate n’okwenyigira mu mirimu gy’eKkanisa olwo nga beyongera okukulakulana Mukama n’abawa emikisa okusinga okusaba emyaka ne ebisiibo nga tewali kikyuka

Bw’abadde ayogerako eri abantu baKatonda bonna ababaddewo mukusaba kuno Omulabirizi Ssebaggala agambye nti kyanaku Gavumenti ya NRM okukwata ensimbi zz’omuwi w’omusolo okuzitwala eKayunga okugulira abalonzi ate ng’abantu babadde babonabona n’akalatira abantu baKatonda bonna okutandiika okwekolera ku bizibu byabwe ate n’okusitula ebitundu byabwe okusinga okukabirira Gavumenti etabayambye.

Wabula ye Ssabadiikoni w’Obussabadiikoni bw’eKasawo, Ven Rev Moses Munaku kama ategezeza nti newankubadde waliwo abaana abafunye embuto olw’omugalo ate n’okuzaala naye asabye Abazadde okubawa omukisa gw’okubiri bamalirize emisomo gyaabwe era n’abasaba okufuba okuteekateeka abaana baabwe nga badayo ku massomero.

Story by Mukono Diocese Press Unit

Leave A Reply

Your email address will not be published.