Kayunga: Nakwedde Ajunye Abato Abatikkibwa Embuto Mu COVID
Abaana abawala abakosebwa omugalo ogwe myaka ebiri nebafuniramu embuto mu district ye Kayunga baddukiriddwa eyali yesimbyewo ku bwa ssentebe bwa district ye Kayunga Nakwedde Harriet nebintu ebinabataasako mumbeera zabwe ezabulijjo.
Ebintu bino bibawereddwa ku mulamwa ogugamba nti okuzimba esuubi eri omukisa ogwo kubiri ku baana abawala abakosebwa omugalo gwa covid 19 ngono agamaba nti bano tebalina kulekebwa mabega olwekyo kyebatukaako.
Ebimu ku biwereddwayo mubaddemu obugoye bwa baana, ebbafu, ssabuni nebirala ngera wano agabiddeko abaana abawerera ddala 100 nga bino bigabidde mu maka ge agasangibwa e Namagabi argn add district ye Kayunga.
“Kino kyetukola ekyokubazimbamu esuubi tekikomye wano wabula tugenda sigala nga tugenda mubitundu ebyenjawulo nga tubalambula, atasobola kundaba nga omuntu kubikusomooza tuukirira kansala wo, ensonga lwaki tubayise wano, sikubawa bintu bino kyokka wabula okubongera esuubi era nokubateekamu ekyo kyetwagala mubeere.” Nakwedde nga ayogerako eri abaana abafuuka ba maama.
Kumukolo gwegumu kwetabiddwako Hon. Tebandeke Charles omubaka we ssaza lye Bbaale nasaba, Ono yakubidde gavumenti omulanga okwongera amatendekero gebyemikono mu district ye Kayunga olwokutaasa abo ababa tebeyongeddeyo mumisomu gyino egyolubaawo.
Abaana bobuwala abomubyalo ebitundu 59% tebasobola kweyongerayo mumasomero ga ‘Secondary’ olw’Amasomero agesudde ate nga tebyenjigiriza byakibogwe.
Ate bwekyatuuka mu covid, abaana bangi baafuna embuto, bakosebwa ate nga nobusobozi obubaza ku masomero tebuliiwo, tusaba gavumenti eyongere kumuwendo gw’Amasomero gebyemikono kubanga Kiri ne mu manifesto yaabwe, wabula singa kibalema, ffe nga abakulembeze Eno wansi tugenda kwekolamu Omulimu tufune amasomero gano naye agatambula (mobile vocational schools” Ono Tebandeke.
Emirundi egiwerako, Nakwedde nga ayita mukibiina kyabwe ekya Kayunga Community Club alabidwako nga adduukirira abantu abali mumbeera eteyagaza nga ne kulunako lwabakyala baali muddwaliro e Kayunga nga bagaba ebyokozesebwa eri abalwadde nabaana abato.