Ebyemizanyo Tubitwale nga Omulimu, Sikwejalabya- Richard Twodong
Ngomu kukawefube w’okutumbula ebitone byabavubuka mu ggwanga n’okwetolola ensi yonna, abavubuka abasambi b’omupiira abali wansi wemyaka 21 basiibuddwa okugenda mu ggwanga lya Spain okusamba omupiira.
Bwabade asiibula abavubuka bano sabawandiisi w’ekibiina ki NRM Richard Twodong abakalatide okwolesa empisa ennungi era n’okukozesa obukugu bwebayigiriza nga kibasobozese okuganyulwa mu bitone byabwe.
Mungeri yeemu, Twodong ategeezeza abavubuka okutwala ebyemizanyo nga Omulimu kubanga bisobola okubakolera ensimbi ezitalina alina.
“Abantu abazanya omupiira e Spain, Bungereza singa owulira ensimbi zebafuna mumupiira wewunya, bafuna omuddidi gwa sente, singa naffe tufunayo abaana abayingira yo, tuyinza okuyingiza sente nyinji mubyenfuna yaffe, Nsaba abavubuka batwale ebyemizanyo nga ekintu ekyomugaso so singa ekyabulijjo.” Twodong.
Ono abade awerekedwaako omubaka wa Tororo Y’amaserengeta n’eyali omutendesi wa team ya Uganda cranes Moses Basena.
Abazanyi ba Uganda abali wansi wemyaka 20 basibudwa bulungi okwolekera Spain gyebagenda okumala ebanga lwa wiiki 2 nga basambamu ne team za spain ezenjawulo
Kumukolo oguyindidde kukitebbe Kya NRM secretariat ngagukulembedwamu sabawandisi wekibiina Twodong , abazanyi 20 nabakungu 8 basibudwa nga kulwokutano lwebasuubira okusimbula .
Twodong akubiriza abazanyi okubeera nempisa basobole okwetunda kwosa negwanga lyabwe olwo basobole okwenogera kunsimbi ngabayita mu bitone byabwe …
Angura Fredrick ngono mubaka wa Tororo South yakulembeddemu okutwala abasambi bano ategezeza nti eno yemukuntekateka eri mumanifesto ya Nrm okutwala abasambi ebweru basobole okufuna Club mumawanga gabazungu.
Mungeri yemu Fredrick ategezeza nti bafuna licence okuva mu FIFA nemikwano okuli Glassman international group eno evunanyizibwa kukutwala basambi nokubafunira clubs.
Kampani eziyambyeko muntekateka kuliko totoro cement ,water , parliament ,umeme ,fufa ,uganda tourism board,ne NRM secretariat…
Abagenda e Spain
Abazanyi: Alfred Onek, Ivan Asaba, Karim Watambala, Eric Ssenjobe, Derrick Ndahiro, Rashid Mukungu, Alpha Ssali, Derrick Emukule, Gavin Kizito, Andrew Okiring, Paul Willa, Bobosi Byaruhanga, Ivan Ocholit, Kenneth Ssemakula, Hakim Kiwanuka, Marvin Youngman, Derrick Kiggundu, Hassan Ssenyonjo, Bashir Ssekagya, Frank Ssebufu, Salim Abdallah, Ivan Bogere, Simon Tamale
Abakungu – Omer Selli (Coach), Ian Mutenda (Technical Advisor), Ben Karama (goalkeepers coach), Bashir Mutyaba (FUFA official), John Paul Etyang (kitman), andra Nabalayo (Team Doctor).