UgDecides2021: Kyaddaaki Banaddiini Baasimude, Mute abasibidwa Bonna Mubwangu
Kyadaaki banaddiini bavudemu omwasi ne boogera kwebyo ebigenda mumaaso muggwanga.
Olukiiko olutaba enzikiriza z’amadiini gona muggwanga,olwa Inter-Religious Council Of Uganda (IRCU) lusabye gavumenti ya Uganda okuyimbula bunnambiro Bannabyabufuzi nabantu babulijjo bonna,abazze bakwatibwa abebyokwelinda okutandika naabo abayoleddwa akawungezi ke ggulo.
Omuwendo gwabantu babulijjo omutufu abaaze bayolebwa mubikwekweto byabakuuma ddembe omutufu okuva Akakiiko kebyokulonda lwekategeza nga kampeyini zokuwenja akalulu bwezijidwako akawuwo tegunategerekeka kyoka ng’ate waliwo nabamu abafiridde mubikwekweto ebyo.
Ssentebe w’olukiiko olutaba enzikiriza zona muggwanga Mufti wa Uganda Shekhi Shaban Ramadan Mubajje,asinzidde mulukugaana lwabannamawulire olutuuzidwa ku Kitebe kyakakiiko ako e Mengo nasaba gavumenti yakuno okuyimbula banansi abakwatiddwa sinakindi bwebaba baliiko emisango gyebazizza batwalibwe mu kkooti bawozesebwe okusobola okufuna obwenkanya.
Mufti Ramadan Mubajje era alabudde Poliisi yakuno nti esuse mukunyigiriza abantu naddala abo abatakiriziganya na gavumenti eri mubuyinza nga bavunanibwa nga bwebamenye amateeka nebiragiro ebyasibwawo okulwanyisa ekimbe Kya ssennyiga omukambwe,Kyoka nga ate nebanabyabufuzi bangi bannakibiina Kya Nrm abalabidwako nga bamennya ebiragiro byobutasaasanya kimbe Kya covid-19 ate bbo nebatakwatibwako ekiraga nti waliwo kyekubira.
Akulembedemu okusoma ekiwandiiko kino kulwabane, Apostle Dr.Joseph Sserwadda wano wasinzidde nasaba gavumenti naabona abakwatibwako ensonga okukendeza kubukambwe neryanyi lyetadde mukunyigiriza abantu nga twakatambulako enaku 10 zokka ezokuwenja akalulu, bwebatyo nebakiriziganya nga abakulembeze beddiini okusabira abo bonna abakoseddwa mumbera eyabadewo era ekyagenda mumaso okutandika nolwenkya olwa Juma, ku sabiiti eri abadiventi nekulunaku lwa Sunday eri aba church of Uganda nabalokole.
“Ensi ebadde erindiridde banaddiini kyeboogera kubigenda mumaaso muggwanga, ffe abakulembeze benzikiriza mu Uganda tusazeewo twogere kwebyo ebiriwo, olwakusatu lwa wiiki eno ensi yalaba ebikolobero, okwonoona ebintu, okutta abantu nobukambwe obutayogerekeka ebyaddirira okwatibwa kwa Hon. Kyagulanyi ne Hon. Amuriat bwebaali bagenze ku zikampeyini, abantu abatanamanyika muwendo wetwogwogerera bafu, mukirize tusaasire mwena abafiiridwa abantu baabwe, ate nabagenze emyoyo gyabwe giwumule mirembe.
“Tetusobola kwerabira gyetuvudde nobusambattuko obuze bubaawo.
Tutegeere nti ffe twagala mirembe.” Joseph Sserwadda
Tusaba abo bonna abakwatiddwa mubusambatuko bwona obubadewo bateebwe mubwangu obwekitalo.
Mulukugaana lwerumu His Grace Ssabalabirizi wa Uganda The Right Rev Dr. Samuel Stephen Kasumba Mugalu alabudde nti singa embera eno yeyongerayo bwetyo, obusungu mubannansi bwakweyongera ekiyinza okuvirako eggwanga lino okutabanguka.
Mubufu bwebumu Kati ate ye Ssabasumba weKeleziya ya Uganda The Right Rev Dr.Cyprian Kizito Lwanga agambye nti ekyagudewo olunaku lwajo muyuganda kiswaalo kyenyini munsi yona kale nga gavumenti esanye eveyo ebeko kyekolawo.